Amawulire
Mutabani wa Juliana aziikibwa lwakutaano
Omulambo gwa mutabani w’omuyimbi Juliana Kanyomozi tukitegeddeko nti bikyuseemu nga gwakutuuka olunaku lw’enkya
Keron Kabugo yafudde olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okuziyira
Enteekateeka efulumiziddwa ab’omumaka eraga nti olwaleero wagenda kubaawo olumbe mu maka ga Juliana e Lungujja n’ebbuga mu maka ga jjajja w’omugenzi olunaku lw’enkya
Ku lw’okusatu, omulambo gwakubeera mu maka ga Juliana E Lungujja, ku lw’okuna gubeera ewa Jjajja w’omwana e Bbunga ate ku lw’okutaano aziikibwe
Kabugo y’abadde mutabani wa Juliana omu gw’alina mu bulamu era ng’abadde mukwano gwe.
Bbo abayimbi abatali bamu basaasidde Juliana olw’okufiirwa mutabani we nebamusabira agume