Amawulire

Abe Makerere bazzeemu okwekalakaasa

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

MUK students reading

Abayizi b’emakerere balumbye ekizimbe ewatuula  abamu ku batwala ettendekero lino ekya Senate nebakyankalanya olukiiko lw’abakulira ettendekero lino ababadde bakuuta amabaluwa g’abayizi abapya nga fiizi zongezeddwa n’ebitundu 10%.

Wowulirira bino nga ebikumi n’ebikumi by’abayizi bano bagumbye ku kibangirizi kya Freedom Square nga balaalise okweteeka mu ddene okutuuka ku palamenti singa ssabapoliisi w’eggwanga ne minisita w’ebyenjigiriza tebogerako gyebali mu ssawa emu.

Akulira abayizi bano Ivan Bwowe akulembeddemu banne okuwakanya  eky’okwongeza ebisale n’ebitundu 10% era baweze nti ssibakukikiriza.

Wabula poliisi ebalabukiridde mangu nebagumbulula.

Tukitegeddeko nga ne ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kayihura bwatanasisinkanamu bayizi bano