Amawulire
Laddu esse abaana munaana
Laddu esse abayizi munaana ab’essomero lya Burambi primary school.
Essomero lino lisangibwamu disitulikiti ye Ishaka .
RDC we Bushenyi, Hajji Isaac Kawooya agambye nti akabenje kano kabaddewo mu kaseera k’olukuba olutonnye akawungeezi ka leero.
Kawooya wabula agambye nti ekibenyamizza kwekulaba nga essomero lino teririna buuma bukwata laddu
Yye akulira essomero lino, Peace Kyobutungi agambye nti abaana abafudde bategerekese nga Nanson Nuwamanya, Aston, Junior Nuwahereza, Agnes Muhisenta,Hillary Tumusiime ne Grace Ainembabazi nga bano bonna ba kibiina eky’omusanvu
Abalala babadde mu kibiina ky’omukaaga nga bategerekese nga Anita Niwandinda ne Confort Akampurira.
Abaana abalala 10 bawereddwa ebitanda ku ddwaliro lya Kampala International teaching hospital.