Amawulire
Ebyokwerinda kasiggu ng’eyasomola ebyaama awoza
Okuwozesa ofiisa wa poliisi eyapasula ebyaama ebyayoleka ssenkaggale wa poliisi kale Kaihura ng’asalira ssabaminista Amama Mbabazi olukwe kugenze mu maaso wakati mu by’okwerinda kasiggu
Yadde nga kkooti eyabulijjo, enziji zonna zibaddeko abakuumi abali mu byambalo n’abatalina
Kino kirese abantu bangi nga bali mu nkuubo ate ng’abalala obwedda beelolera ku bakuumaddembe obwedda abeetala
Ronald Poteri avunaanibwa kusomola byaama bya poliisi ng’asasaanya obutambi obwogerwaako
Oludda oluwaabi lugamba nti kino kyaliwo mu mwezi gw’okusati omwaka guno nga Poteri yasinziira ku kitebe kya bambega ba poliisi okukola kino.