Ng’ebula ssabbiiti bbiri zokka okuwandiisa abafuna endagamuntu kufundikirwe, ebikozesebwa mu bifo ebimu bifuuse bya kkekkwa
Awasinga , tewali foomu bantu kwebassa bibakwatako era balabye biri bityo bangi nebabivaako
Mu bakoseddwa mwemuli Makerere, Mityana, Namuwongo n’ebifo ebirala
Kati amyuka omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana agamba nti bafunye ku mawulire nti waliwo abawandiisa abantu abakweese foomu zino era nga batundantunde ekintu ekimenya amateeka
Katana agamba nti baawereza foomu ezimala kyokka nga nabo kibaweddeko okuwulira nti waliwo abafiikkidde
Bino bizze nga minisitule emu yakateegeza nga bweyatandise okukubaganya ebirowoozo ku ky’okwongezaayo okuwandiisa abantu kubanga bangi bakyafikkidde
Mu butongole enteekateeka eno ekoma nga 14 omwezi gw’enkya