Amawulire
Akakiiko akalondesa kagaala nsimbi
Ensimbi ezigenda okukozebwa mu kutegeka okulonda zeekubisizzaamu emirundi esatu mu mwaka gw’ebyensimbi guno
Atwala eby’emirimu mu kakiiko akalondesa Leon Mulekhwaagamba nti beetaga obuwumbu 150 okuva ku buwumbi 51 zeebaakoza omwaka oguwedde
Omukulu ono agambye nti engeri omwaka guno gyegulimu eby’okulonda, bajja kukozesa ensimbi eziwera
Ono era asabye palamenti okuwagira akakiiko okulaba nti bafuna obuwumbi 243 zebeetaga okuddukanya emirimu gyaabwe
Mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogutuukira ddala mu mwezi gw’omukaaga omwezi ogujja mwebagenda okugulira ebikozesebwa mu kulonda, okutereeza empereza ,okugula ebyuuma ebikozesebwa mu by’okulonda
Ono agamba nti era omwaka guno, mwebagenda okusomeseza abalonzi n’okufuna abanayamba mu kulonda okw’omwaka 2016