Amawulire
Aba Taxi beekalakasizza
Ba dereeva ba taxi e Nabweru bakedde kwekalakaasa nga bemulugunya ku mbeera embi mwebakolera.
Ba dereeva bano basimbyeku paaka ye Nabweru .
Bano bagamba nti abakulembeze baabwe babatulugunya lwabutasasula nsimbi za munno mu kabi ate nga zino pulezidenti Museveni yaziwera olw’obutabaako mbalirira
Aba taxi bategeezezza nti babajjako shs 2000 buli lwebatikka naye nga bw’obuuza gyeziraga teri amanyi ate nga atazisasula bamugoba ku siteegi
Bano bagaala bekukwatako bonna kusitukiramu okunonyereza ku nsonga eno ng’ekizimba tekinnasamba ddagala
Mu mwaka gwa 2011, pulezidenti Museveni yawera ensimbi zino nga mu kaseera ako , aba UTODA beebali baddukanya omulimu gwa taxi.