Amawulire

Aba Banyoro ensonga bazitutte mu palamenti

Ali Mivule

August 21st, 2014

No comments

Oil prodn

Waliwo ekibinja ky’abavubuka abasoba mu 40 okuva e Bunyoro abalumbye palamenti nebakwanga  sipiika nebakwanga sipiika ekiwandiiko nga bemulugunya ku makampuni agasima amafuta okuleka ebbali abaana enzaliranwa nebawa abalala emirimu.

Nga bakulembeddwamu Johnson  Mutumba bagamba amakampuni gano era gamala gamansa obukyafu okuva mu byebasima kale nga kyabulabe erio eby’obulamu bwaabwe.

Ono asabye palamenti okunonyereza ku nsonga eno ssaako n’okulaba nga amakampuni gano gasasula abo bonna abatwalibwako ettaka lyaabwe nga amafuta gano gasimibwa.

Yye sipiika asuubuzza ensonga yaabwe okugyongerayo mu kakiiko ka palamenti akakwatibwako.