Amawulire
Obuzigu mu kampala- Abazigu babakutte
Poliisi e Kabalagala ekutte omu ku batujju abaabadde batigomya ab’omu bitundu bino
Isa Okello yakwatiddwa ng’agezaako okunyagulula ekirabo ky’emmere ekimanyiddwa nga Abeneti ekisangibwa e Kabalagala
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti omusajja ono basuubira nti yoomu ku kibondo ky’ababbi abatigomya ababeera e Kansanga, Kabalagala ne Munyonyo.
Mu ngeri yeemu era poliisi enoonya amazigu abase omugoba wa bodaboda mu bitundu bye Munyonyo Buziga
Mu ngeri yeemu
Poliisi e Wandegeya ekutte abantu babiri abanyaguludde
Abakwatiddwa kuliko Charles Kato ne Richard Latim
Abaami bano nga bakuumi mu kkampuni enkuumi eya Tight Security basangiddwa n’emmotoak enzibe kika kya Noah no. UAJ 856
Aduumira poliisi ye Wandegeya, Ceaser Tusingwire agamba nti bano era baliko n’ebyuuma ebirala ebikozesebwa mu kusasula byebabbye