Amawulire

Ow’emyaka 14 asingisiddw aogw’ettemu

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Justice

Omuvubuka ow’emyaka 14 yoomu kw’abo 5 abasingisiddwa omusango gw’okutemula mukama waabwe.

Josephine Nalwadde yattibwa mu mwaka gwa 2012 mu bitundu bye Kamengo Mpigi.

Abasingisiddwa omusango kuliko Jerevasio Kabagambe, John Muhigo, Jackson Kivumbi, John Musisi ne David Mwanje ow’emyaka 14.

Mu nsalawo ye,Omulamuzi Jane Alividza agambye nti afunye obujulizi obukakasa nti abakulu bano beekobaana nebatta omukyala ono.

Obuzibu bwonna bwava ku nsimbi nga baabaza Nalwadda ng’ali yekka ewaka, nebamulumba mu kisenge kye nebatta olwo nebakuulita n’ebintu ebibalirirwaamu obukadde asatu n’ensimbi enkalu obukadde 5.

Omulamuzi wakubawa ebibonerezo ssabiiti ejja