Ebyobulamu
Ebola- Teri kutambula mu Sierra Leone
Mu ggwanga lya Sierra Leone abantu bassiddwaako natti okutambula okumala ennaku ssatu n’okigendererwa ky’okulemesa ekirwadde kya Ebola okubuna
Abantu bangi babadde batya okutambula okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi kyokka nga katia basawo bakuva nju ku nju
Abasawo abasoba mu mitwalo esatu era bagaba ssabbuuni n’okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu keirwadde kya Ebola
Ate mu ggwanga lya Guinea, emirambo gya bannamawulire n’abasawo abattiddwa nga basomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu ekirwadde kya Ebola gizuuliddwa