Ebyobulamu
Abalema bayambiddwa
Abalwadde abalina obulemu,abasoba 500 bebafunye obujanjabi obwobwerere okuva mu ddwaliro lye Mulago, mu kawefube awomeddwamu omutwe abasawo okuva mu ggwanga lya Bungereza.
Akulemebddemu abasawo bano Dr. Trudy Owens agambye nti abalwadde bano bawereddwa ebintu omuli engatto z’abalema, obugaali n’ebintu ebirala.
Wabula Dr. Owen, alaze okutya olw’omuwendo gw’abantu abalina obulemu ku mibiri okweyongera mu ggwanga.