Ebyobulamu
Poliyo yandiddamu okujojobya Uganda
Okubalukawo kwa Poliyo mu mawanga agaliraanye Uganda okuli Somalia, Central African republic ne Mu Kenya kwandikosa olutalo ku bulwadde buno mu uganda
Okusinziira ku musawo omukugu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr Bakyaita Basajja Tebadiba, obulwadde buno bwandituuka ne wano olw’ensalo ezitaliiko nnyo natti
Dr Bakyaita agamba nti Uganda yeewa omwaka gwa 2018 okubeera ng’obulwadde buno buweddewo kyokka nga kino kyandigaana
Kino kizze nga gigenda kuwera mukaaga bukyanga bakugu mu byobulamu okuba e Tanzania bakalabula nti abaana abali mu bukadde bubiri n’ekitundu beebali mu bulabe bw’okufuna obulwadde bwa poliyo mu Uganda.
Minisitule y’ebyobulamu nno bino tebitudde nga byalusaago nga kati yakutandika okugema abaana bonna
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Asuman Lukwago agamba nti bakusookera mu bifo ebiri bulabe ennyo.