Ebyobulamu
Siirimu wakulabika nga bukyaali mu baana
Abakugu bazudde enkola abasawo gyebayinza okukozesa okutegeera abaana abazaaliddwa n’ekirwadde kya mukenenya.
Minisitule y’ebyobulamu etongozezza enkola eno ekozesa ekyuuma eky’omulembe
Minisita akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti luli kibadde kibatwalira ssabbiiti bbiri ekitono ennyo okukebera omwana kyokka nga kati kyakumala ssaawa busaawa.
Omu ku bakulembeddemu okuzuula ekyuuma kino Dr Laurdes Nadala agamba nti abaana abaweza ebitundu ana ku kikumi abazaalibwa n’obulwadde bwa mukenenya beebajja okutaasibwa.