Skip to content Skip to footer

Akabenje e South Sudan- Emirambo gifunise

Bakulu coach in accident

Kyaddaaki  abafiiriddwa abaabwe mu kabenje akaagudde e Nimule mu south sudan bafunye emirambo gy’abantu baabwe.

kinajukirwa nti emirambo gino gyasooka kukandalirira mu kkubo olw’akiloole kya kampuni ya Bakulu coach okusooka okukwamira mu kkubo e Gulu.

Gyebuvuddeko abantu ab’enjawulo bakedde kweyiwa ku ddwaliro ly’eMulago okukima emirambo gy’abantu baabwe egyatuuse akawungeezi akayise wabula nga bemulugunya olw’okulwawo okubaweebwa.

9 ku bantu 31 abaafudde emirambo gyaabwe gyegyaleteddwa.

Abakulira baasi za Bakulu batangazizza ku mirambo gyabannayuganda abafiira mu kabenja e South Sudan abaleteddwa mu ddwaliro ekkulu erye Mulago.

Kino kiddiridde  emirambo 9 gyokka okukomezebwako kyegyo 31.

Omu ku bakulu mu campuni eno Fazil Agala agambye nti emotoka  ya Bakulu yaleeta emirambo  12 okuva e Gulu, kyokka emirambo ebiri negyasigala e Nakasongola ne Luweero abagenzi gyebaali bazaalibwa.

Fazil agambye nti bbo ng’aba baasi tebalina kyebamanyi ku mirambo emirala.

Leave a comment

0.0/5