Ebyobulamu
Eddwaliro lye Kabale lyakutereezebwa
Minisitule y’ebyobulamu ewaddeyo ettaka okugenda okuzimbibwa leeba ku ddwaliro lye Kabale
Akola ku by’obulwaliro mu minisitule y’ebyobulamu Dr Jacinto Amandua agamba nti omulimu gwakumala emyezi 14
Dr Amandua agambye nti gavumenti ya Japan yeeyabaddukiridde n’obuwumbi 370 okukola ku malwaliro agawera okuli n’erye Hoima ne Fortportal.
Bano era baboongera obukadde 199 ez’okugula ebyuuma eby’okussa mu malwaliro gano
Dokita alina essuubi nti ng’embeera eteredde mu malwaliro g’ebyaalo, omugotteko gwakukendeera ku ddwaliro ekkulu