Ebyobulamu
Senyiga mulwanyisa na mazzi
Obadde okimanyi nti omuntu amala ennaku bbiri ng’anfunye ssenyiga kyokka nga talaga
Senyiga omu ku mutendera guno oluusi abula ate n’adda omuntu n’ataggwaako lunyira
Omusawo mu ddwaliro e Mulago Dr Charles Kasozi agamba nti senyiga w’ekika kino akwata abantu abalina ebizibu mu nyindo zaabwe naddala abo abasanga obuzibu mu kussa
Dr Kasozi agamba nti senyiga bw’ati atera okuleeta omusujja , okukulukuta, okulumya omutwe, okukaza emimiro n’okukoloza
Dokita agamba nti senyiga ono asobola okuziyizibwa ng’omuntu anywa amazzi agawera n’okwewala ebinyogoga