Skip to content Skip to footer

11 tebalina Marburg

Ebola misinde

Abantu 11 kw’abo abakwaase ku Muntu eyafudde ekirwadde kya Marburg kikakasiddwa nti tebalina kirwadde kino

Bino byebivudde mu kukebera omusaayi gw’abantu bano ku ddwaliro erikola ku buwuka obw’akabi ennyo Entebbe.

Atwala ebyobujjanjabi ebyawamu Dr.Jane Acheng agamba nti yadde abantu bano babadde n’obubonero obwefananyirizaako obw’abalina Marburg, obulwadde bwenyini tebabulina

Ku balubuyiseeko kuliko abasawo babiri okuva ku Mild may, musanvu okuva e Mpigi, n’abenganda z’omugenzi

Kati abantu basatu beebasigadde nga bawuddwa nga kuno kuliko n’akalenzi k’emyaka omusanvu

Dr. Achieng agamba nti okutwaliza awamu abantu 99 beebalondoola.

Obulwadde buno butambula ssinga atabulina akwata ku malusu g’abulina, omusaayi , obubi oba omusulo

Obulwadde buno busooka na musujja, omutwe, okumenyeka enyingo, n’okuvaamu omusaayi

Leave a comment

0.0/5