Ebyobulamu
Yinsuwa ku byobulamu ejja
Mu kawefube w’okulongoosa ebyobulamu mu ggwanga, minisitule y’ebyobulamu ereese enkolaku yinsuwa y’obulamu
Bino byogedddwa kamisona akola ku by’okutekeerateekera minisitule eno Dr. Francis Runumi Mwesigye bw’abadde ayogerako eri bannamawulire
Agamba nti abantu bajjanga kuba basasula ssente ez’omwaka olwo bwebalwaawo nebajjanjabwa
Dokita Runumi agamba nti kino kijja nakukendeeza abantu abaddukira mu malwaliro ga gavumenti gokka
Dr. Mwesigye agamba nti kino okubaawo, abafuna emisaala bakusala nga ku misaala gy’abakozi ebitundu 4 ku kikumi olwo ne gavumenti egatteko ebitundu munaana ku kimu