Amawulire
Akalabba kaveewo- ensawo ku battibwa essibweewo
Abalwanirira eddembe ly’abantu bagaala gavumenti esseewo ensawo omunaava ensimbi eziriyirira ab’enganda z’abantu abatemulwa mu ggwanga.
Akulira ekibiina kya Foundation for Human Rights Initiative, Dr. Livingstone Ssewanyana y’akoze okusaba kuno bw’abadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’okusaba nti akalabba kawerebwe.
Sewanyana agamba nti buvunaanyizibwa bwa gavumenti okukuuma abantu nga ssinga kigaana erina okunyonyola
Yye omu ku baali ku kibonerezo kya kalabba wabula n’asonyiyibwa Chris Rwakasisi azzeem okusaba nti akalabba kaveewo
Ono agamba nti akalabba ssi kibonerezo kubanga okuleka omuntu okulowooza ennyo, tekiwa Muntu budde kulongoosa mpisa ze
Rwakasisi yasonyibwa pulezidenti Museveni oluvanyuma lw’okumala mu kkomera emyaaka egisoba mu 20.