Ebyobulamu
Olunaku lw’abatalaba- omuggo gwebakozesa mukulu
Kkampuni ya monitor publications yegasse ku bakuza olunaku lw’okutumbula omuggo ogukozesebwa abalema
Olunaku luno lukwatibwa buli nga 14 omwezi gw’ekkumi nga lukwatagana n’olw’okulwanyisa endwadde z’amaaso
Kati abakozi ba monitor bayambye ku bantu bano okutambula okuva ku centenary park okutuuka e Lugogo ku katikati
Omu ku bakulu mu monitor publication Joseph Beyanga agamba nti ekigendererwa kutegeeza bantu nti abantu bano beetaga obuyambi era buli omu alina ky’ayinza okukola okuyambako
Abayizi abalina obuzibu ku maaso e Makerere tebalina bikozesebwa okusobola okukkakkalabya emisomo gyaabwe
Abayizi bano bagamba nti basanze obuzibu bwa maanyi okusoma byebabawa
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abayizi abalina obulemu ku mibiri gyaabwe e Makerere Alex Lukwago sagamba nti bangi era tebalina babayambako nga bwebekyaawa nga byonna babisuulawo