Amawulire
Poliisi etubidde ku bya naggagga Kasiwuukira
N’okutuusa kati poliisi tenazuula abagambibwa okutta nagagga Erias ssebunya bangi gwebamanyi nga kasiiwukira.
Kasiwukira yatomerwa emmotoka kumpi n’amaka ge e Muyenga bweyali akedde okukola dduyiro nga bweyali atera okukola buli lunaku.
Poliisi etebereza nti yatomerwa mu bugenderevu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba baasudde dda enkesi buli wamu okuyigga emmotoka eyasse Kasiwukira.
Bino bizze ng’amaloboozi agasaba nti okunonyereza ku yatta Kasiwuukira kukolebwe mu bwangu era abavunaanibwa bakwatibwa.