Ebyobulamu

Uganda yava dda ku mulamwa ku bakyala abafiira mu sanya

Ali Mivule

October 20th, 2014

No comments

Pre pregancy

Eggwanga lyava dda ku luguudo okutuukiriza ekigendererwa ky’ekyaasa namba ttaano nga kino kikwata ku kukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya

Akulira ekiwayi ekitekeerateekera essomero ly’ebyobulamu e Makerere Prof Fred Sengoba agamba nti yadde omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya bakendeddde nga kati bakyala 146 ku mitwaalo ekkumi beebafa, emiwendo gino gikyaali waggulu nnyo

Prof Sengoba agamba nti abakyala bangi abali embuto besulubabba amalwaliro ate nga n’abajjamu embuto bakyaali bangi era nga ku bano abasinga bafa

Sengooba bino abyogedde mu lukungaana lw’okupima n’okwekeneenya Uganda wa w’etuuse mu kutuukiriza ekigendererwa ky’okumalawo abakyala abafiira mu sanya

Eddwaliro lye Mbarara lyerisinga okufiisa abakyala ate nga Nagulu y’esinga obutafiisa bakyala

Ebibiina by’obwa nakyeewa bisabye gavumenti okulaga wa w’eyimiridde ku nsonga y’okujjamue mbuto

Akulira ekibiina kya Uganda National Health Consumers Robina Keitiritimba agamba nti abakyala bangi bafa nga bajjamu embuto kale nga yadde kizibu okukkiriza naye abakyala bano beetaga obuyambi

Keritiritimba era agamba nti ssinga wlaiwo amalwaliro agayambako abakyala bano kijja kukendeeza omuwendo gw’abafa

Kigambibwa ebitundu 10 ku bakyala abafiira mu sanya baba bajjamu mbuto