Amawulire

Ebye Makerere bisalibwaawo nkya

Ali Mivule

October 20th, 2014

No comments

MUk Strike 2

Abakulembeze b’ettendekero lye Makerere bategeezezza nga bwebagenda okuvaayo n’eky’okukolera abayizi abeekalakaasa olunaku lw’enkya

Kiddiridde abayizi okwekalakaasa olunaku lwaleero nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikkirwa okuva ku mitwalo 9 okutuuka ku mitwalo 22

Mu kavuvungano, abayizi babiri beebalumiziddwa  nga poliisi egezaako okulemesa abayizi

Kati amyuka ssenkulu Prof Barnabas Nawangwe agamba nti bagenda kutuulamu ng’abakulu n’oluvanyuma baveeyo n’ekiwandiiko olunaku lw’enkya

Bbo abayizi balemeddeko nti tebajja kukoma kwekalakaas okutuuka nga ensimbi zino zisse