Amawulire
Abakolera mu paaka enkadde tebakyebaka
Abantu abakolera mu paaka enkadde emitima gibewanise oluvanyuma lwa KCCA okuddamu okubajjukiza nti balina okusengula ebyaabwe
Bano baali baweebwa ennaku 28 okwamuka paaka eno kyokka nga kati bongeddwaayo obudde okutuuka nga 31 omwezi gwa December.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bamaze okufuna kontulakita agenda okuddabiriza paaka eno omwezi ogujja era nga bano bakukkirizibwa okukola Christmas yokka
Kawuju asabye abasuubuzi bano okugenda mu butale 69 obuli mu kampala n’emiriraano.
Abasuubuzi bano nno ng’abasinga ba buyumba n’emidaala bagamba KCCA yandibalese nebakola okutuuka nga ne Taxi zigenze kubanga bajja kuba bamaze okwetegeka