Ebyobulamu
Eyali yasanyalala atambudde
Omusajja eyali yasanyalala amagulu gonna olwaleero azzeemu okutambula oluvanyuma lw’okulongoosa
Kuno kwekulongoosa kw’ekika kino okusoose okuvaamu ebibala
Darek Fidyka yali yasanyalala okuva mu kifuba okukkira ddala okutuuka ku magulu oluvanyuma lw’okufumitibwa ekiso mu mwaka gwa 2010.
Abakugu okuva mu ggwanga lya Poland beebakoze ku musajja ono nga bakutte obusomyo obuli mu musuwa gw’okunyindo nebabumussa mu nkizi ekimuyambye okujja ng’atereera era olwaleero asimbye amagulu n’omuggo n’atambula