Amawulire

Laddu ekubye abaana

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

lightening

Mu disitulikiti ye Tororo laddu ekubye abaana b’essomero 9 .

 

Bano bonna bayizi mu ssomero lya  Abubakari Primary School  nga era baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

 

Omu ku bakozi b’essomero lino Rose Atabong  nga y’abaddusizza mu ddwaliro ategezezza nga bano laddu bwebakubye nga bazanyira mu luggya nga n’enkuba tetonya.

 

Omu ku basawo b’eddwaliro abaana bano gyebatwaliddwa Dr. Andrew Opete ategezezza nti yadde nga bano tebamanyi biri ku nsi, embeera yaabwe teyeralikiriza nnyo.