Ebyobulamu
Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo w’amabeere
Abakyala bonna basaanye okukeberebwa kokoolo w’amabeere
Akulira ekibiina ekiyamba ku bakyala abafuna kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti kirina okufuulibwa eky’etteeka nti abakyala bonna bakeberebwa kokoolo ono okusobola okufuna obujjanjabi nga bukyaali
Mayengo agamba nti gvaumenti eyinza okukulemberamu omulimu guno ng’ekikola mu malwaliro gaayo gonna.
Okusinziira ku kibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna, kokoolo w’amabeera yeeyakasinga okutta abakyala ng’emitwaalo 45 beebafa buli mwaka.