Amawulire

Emirimu gisanyaladde nga Besigye akwatibwa

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Besigye arrested

Emirimu gisanyaladde ku Hotel ya Brovad e Masaka, poliisi bw’ezinzeeko ekifo n’egoba Dr Kiiza Besigye okuva mu lukiiko olutegekeddwa bannakyeewa

Abasirikale abampi n’abawanvu bayiiriddwa ku wooteri ebweru nebalagira Besigye okufuluma

Olukiiko luno lubadde lutegekedde kukungaanya birowoozo okuva eri abakulembeze b’ebitundu, bannabyabufuzi, bannaddiini n’abantu ba bulijjo okuva mu Buganda ku mateeka g’eby’okulonda

Abategese olukiiko luno bagamba nti Besigye tebamuyise kyokka ng’abadde waddembe okwetaba mu Lukiiko kubanga n’abalwetabyeemu, tewlai yawereddwa bbaluwa

Wabula amyuka omuduumizi wa poliisi eruuyi eyo Edward Mugweri agamba nti bayitiddwa abantu abateegeezezza nti babadde tebataaya nga Besigye ali mu Lukiiko lwelumu nabo