Ebyobulamu

Abalwadde b’akafuba beeyongedde

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

TB patient

Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kigamba nti abantu emitwaalo 50 beebalina obulwadde bw’akafuba

Mu mwaka oguwedde gwonna abantu obukadde mwenda beebafuna akafuba okwetoloola ensimbi yonna okwawukanako n’obukadde munaana kitundu abafuna obulwadde bwebumu mu mwaka 2012.

Wabula yadde guno bweguli, omuwendo gw’abafa obulwadde buno ggwo gukendedde

Abali mu kisinde ekirwanyisa akafuba bagamba nti emiwendo emiggya gyerariikiriza era buli omu alina okusitukramu okuyambako