Amawulire
Akasattiro ku ddwaliro e Mubende
Wabaddewo akassatiro ku ddwaliro ly’e Bukuya mu district ye Mubende,oluvanyuma lw’omu ku balwadde okufa n’obubonero obwefananyizaako obw’ekirwadde kya Marburg.
Omusajja ono akadde kutwalibwa mu ddwaliro nga atawanyizibwa ekirwadde ky’akafuba wabula oluvanyuma n’afiira mu muti w’abadde yewogomye.
Abatuuze bonna beesambye omulambo guno nga era teri agukutteko n’okutuusa essaawa eno.
Ye ssentebe wa LC3 owa Bukuya HajjI Sulaiman Tanula asabye ab’ebyobulamu okugenda amangu e Bukuya okwekebejja omulambo guno.
Obumu ku bubonero bwa Marburg kuliko okuva omusaayi mu bitundu by’omubiri nga kwogasse okubobbwa omutwe.