Amawulire
Omukyala awanuse ku kizimbe neyetta-Abadde yakava e Dubai
Ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya National social security fund kyenyamidde olw’omukyala ayettidde ku ofiisi zaakyo olwaleero
Omukyala ono ategerekese nga Annet Ashabanga we sembabule abuse kuva ku mwaliro gwe 14th ku kizimbe kya Knight Frank n’afiirawo
Ekiwandiiko ekivudde mu NSSF kigamba nti Ashaba awaddeyo paasipoota ye ng’abagenyi abalala era nebamukkiriza okunyingira .
Omukyala ono awalampye okutuuka ku mwaliro gwe 14 era nga waliwo omukyaala ayonja amulabye ng’agenda okubuuka kyokka nga bagenze okumutuukako ng’amaze okubuuka
NSSF egamba nti netegefu okukolagana ne poliisi kko ne bannayini kizimbe okulaba nti bategeera ekivuddeko omuwala ono ow’emyaka 26 okwejja mu bulamu bw’ensi
Ono nno ssi y’asoose nga ne mu mwaka 2012 waliwo omukyala omulala amanyiddwa nga Justine Nalugya okuva Kamuli zone eKireka eyettira ku kizimbe kyekimu ekya House House.
Yye Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirwano Patrick Onyango poliisi etandise okunonyereza ku nsonga eno ng’omulambo gw’omukyala ono gutwaliddwa e Mulago
Onyango agamba nti byebakafunawo biraga nti omuwala ono abadde yakava e Dubai era ng’abadde awereeza ssente kyokka kyamuweddeko okusanga nga zonna bulijjo ziriibwa buliibwa