Olwali
Eyalimba nti Kiggala abikooye
Omuwala abadde yalimba muganzi we nti kiggala abikooye n’amubuulira amazima
Omuwala ono agamba nti nga yakalaba muganzi we yamugamba nti kiggala mu by’okusaaga ng’amulemesa kyokka kyamuggwaako omusajja ate bwekyamusanyusa n’ayongera okumwagala
Omuwala ono agamba nti wabula abadde akooye okwebuzabuuza ng’alina okwefuula atawulira
Agambye nti oluusi ayita ku mbwa neziboggola neyekaza ng’atawulidde ng’afa entiisa era nga nebwaba asala ekkubo engombe zezikuba alina okwefuula atawulira
Wabula omuwala ono agamba nti ekimwewunyisa kwekubeera nti muganzi we abadde tamubaaza oba amuwulira atya nga bali mu mukwano