Ebyobulamu
Ebiku biremesezza abayizi okusoma
Ebiku ebiyitiridde mu masomero naddala mu disitilikiti ye Mpigi bikoseza nyo ensoma y’abaana okusinzira ku kunonyereza okukoleddwa abali abayizi mu district eno wamu n’abasawo.
Abasoose okubirozaako beebayizi ba St Balikuddembe Mitala Maria.
Ng’afulumya alipoota ekwata ku biku n’engeri gyebikosezzaamu abayizi, akulira abaali abayizi Remmiguis Kasozi agambye nti bafubye okulaba nti bakyaala ku ssomero okulaba nti obuzibu buno buggwaawo.
Amyuka akulira essomero lino Charles Tukei agamba nti bafubye okufuuyira ebiku kyokka nga bigaanye okuggwaawo
Anyonyodde nti buli lusoma bakozesa akakadde kamu mu emitwalo 90 okufuuyira nga tebafunyeemu