Amawulire

Siriimu mungi mu bavubuka

Ali Mivule

October 27th, 2014

No comments

HIV victims

Kizuuliddwa nti abantu 70% abakwatibwa ekirwadde kya siriimu bavubuka.

Okusinzira ku kunonyereza, sirimu asaasanira ku bitundu 4.2% ku bawala okusinga ku balenzi abali wakati w’emyaka 15- 35.

Wano minisitule y’ebyobulamu n’ekitongole kya Uganda Aids Commission webasinzidde nebatongoza kawefube w’okusasanya obubaka obuggya obw’okulwanyisa siriimu mu bavubuka.

Minister omubeezi akola guno naguli Sarah Opendi agamba nti bakizudde nti kati abavubuka bangi tebakyatya mukenenya nga bamutwala nga musujja nga nabo babadde balina okukyuusa

Ssentebe w’akakiiko aka mukenenya, Prof Vinand Natulya agamba nti baakuyita mu bayimbi n’eby’emizannyo okulaba nga basomesa abavubuka ku ngeri y’okwewalamu obulwadde bwa mukenenya