Ebyobulamu

Amalwaliro gafunye emifaliso

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

hospital in

Minisitule y’ebyobulamu olwaleero etandise okugaba emifaliso mu malwaliro ga gavumenti

Emifaliso gino akanaana gimazeewo akawumbi kamu mu obukadde 250 nga gyaguliddwa oluvanyuma lw’ababaka ababadde balambula amalwaliro ga gavumenti okulagira nti gigulwe

Ababaka bano bakizuula nti yadde amalwaliro galina ebitanda, tekuli mifaliso era gyebigweera ng’abalwadde beebase wansi

Ng’awaayo emifaliso gino, minisita omubeezi akola ku byobulamu Ellioda Tumwesigye agambye nti emifaliso 6000 gigenda mu malwaliro amanene ate emirala enkumi 2 gyakugenda mu matonotono.

Tumwesigye agamba nti emifaliso gino girambiddwa bulungi n’asaba abantu okugirondoola okulaba nti tegibbibwa bakozi mu malwaliro.