Amawulire
Omukulembeze wa Zambia afudde
Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia Michael Sata afudde.
ono afudde ekirwadde ekitanategerekeka ekibadde kimubala embiriizi okumala akaseera.
Amawulire mu Zambia galaga nga Sta bweyafudde ku lwokubiri ekiro.
Tekinamanyika ani agenda okudda mu bigere by’omugenzi wabula nga kabineti essaawa yonna etuula okulaba ekyokukola.
ku ntandikwa y’omwaka guno amawulire gaafuluma nga Sata bweyaddusibwa mu Bungereza okujanjabibwa wabula nga abalala bagamba nti embeera ye mbi.