Ebyobulamu
Kasasiro abatta
Abantu ababeera okumpi n’eddwaliro lye Masaka bakooye kasasiro ava mu ddwaliro lino
Eddwaliro lino lirina ekipipa kya kasasiro ebweru omusuulibwa kasasiro okuva ku ddwaliro nga kino kiri kumpi n’oluguudo olugenda e Katwe Kasajjagirwa
Abatuuze ababeera ku byaalo ebiri okumpi n’ekipipa kino bagamba nti kasasiro abayitiriddeko okuwunya ate ng’ali na mu bbanga
Nga bakulembeddwaamu ssentebe w’ekyaalo Patrick Muyobo,abatuuze bagamba nti eddwaliro teryookya kasasiro era ng’obulamu bwaabwe buli mu matigga
Bagamba nti eddwaliro lisuula ppamba, gilaavu, obucupa, empiso n’ebijama ebirongoosebwa mu bantu
Yye omu ku bantu ababeera okumpi ne kasasiro ono Annette Nabanja agamba nti kimukalubiridde okukuuma abaana be b’asanga buli kaseera nga bali mu kasasiro nga bazanyisa n’empiso ezikozeseddwa