Amawulire
Museveni akungubagidde owe Zambia
Pulezidenti Museveni akungubagidde omukulembeze w’eggwanga lya Zambia efudde enkya ya leero.
Michael Sata ow’emyaka 77 afiiridde mu ggwanga lya Bungereza gy’abadde ajjanjabibwa obulwadde obutannaba kwatuulwa
Amyuka omukulembeze w’eggwanga , omuzungu Guy Scott kati ye mukulembeze ow’ekiseera ng’eggwanga lyetegekera omukufuna omukulembeze omuggya mu nnaku kyenda
Scott ye muzungu asoose okufuga eggwanga lya Africa bukyanga ba magulu meeru bafuumulwa.
Pulezidenti Museven agambye nti Uganda erumiddwa wamu ne bannansi ba Zambia kko ne Africa okutwaliza awamu