Amawulire

Omukulembeze wa Burkina Faso avuunikiddwa

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Burkina Faso wins

Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso Blaise Compaore avuunikiddwa.

Ono avuunikiddwa abantu abatandise okwekalakaasa olunaku lwajjo nga bawakanya ekya pulezidenti waabwe okubafuga emyaka 27 ate n’ayagala okweyongeza ekisanja.

Omwogezi w’amaggye g’eggwanga y’alangiridde eri abeekalakaasi nti pulezidenti takyaali mu ntebe

Omukulu ono nno yasoose kutegeeza nga bw’atajja kuva ku ntebe n’asaba bamuweeyo emyezi 12 okuddukanya gavumenti y’ekiseera .

Wabula abavuganya nga bali wamu n’abeekalakaasi bayongedde kumusaba aveeko  n’eby’okukyuusa ssemateeka abiveeko

Abeekalakaasi bano bazinze palamenti nebagitekeera omuliro nga kino kyekyakoleddwa ne ku kitebe ky’ekibiina pulezidenti mw’ava n’ekitebe ky’ekibuga ekikulu eky’eggwanga.

Abantu bano beebamu era babadde batandise n’okwookya amayumba g’ababaka ba palamenti nga bagala bagambe nti musajja waabwe alekulire.

Kuno kwekumu ku kwekalakaasa okusoose okuvuunika omukulembeze w’eggwanga mu lunaku luno ku semazinga wa Africa.