Ebyobulamu
Temuboola balina Ebola
Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Ban Ki-moon avumiridde eky’okuboola abasawo abakola ku balina endwadde ya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa
Ono agamba nti mu kadde kano amawanga mangi agalina abasawo mu mawanga gano bwebadda ewaka babawula ku bantu kyokka nga mu kaseera kano abasawo bano bamugaso ddala
Ono era agambye nti kibalumye nti baakola kitono mu kusooka obulwadde buno nebutta abantu kyokka nga kati bayongeddemu amaanyi.
Ban Ki moon agamba nti bayise kati mu bantu bonna okulaba nti bukubwa ku mukono.