Ebyobulamu
Olusiisira lujjumbiddwa
Olusisira lw’ebyobulamu olugenda mu maaso mu ssaza laya Ssabasajja lujubiddwa.
Olusiisira luno luyindira ku mbuga lye ssaza wakati mu kwetegekera olunaku lwa Bulungi bwansi olugenda okukuzibwa nga 8 omwezi guno.
Minisita w’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda Dr. Ben Mukwaya agambye nti endwadde omuli omusujja, endwadde eziva ku bisolo wamu n’okulya obubi zeezisinga okujanjabibwa.
Dr Mukwaya agambye nti abasawo era bajanjaba obulwadde bwa sirimu wamu n’okukomola abasajja.