Ebyobulamu
abakyala bafudde
Abakyala 11 okuva mu ggwanga lya Buyindi bafudde bwebabadde balongoosebwa okukomezebwa okuzaala
Bano balongooseddwa mu nkambi ekubiddwa okutumbula eky’okukomya abakyala okuzaala mu kawefube w’okukendeeza ku muwendo gw’abazaalibwa
Abali mu 50 bali mu bitanda nga ku bano 20 bali bubi
Abakungu mu minisitule ekola ku byobulamu bana beebawummuziddwa olw’ekibaddewp
Mu ggwanga lya Buyindi, abakyala bakugirwa nnyo okuzaala kyokka nga bangi tebasobola kwesasulira kukoma kuzaala nga bayambibwaako mu nkambi ezikubwa