Amawulire
Abadda mu za Wama mu bukyaamu baluguddemu
Abayimbi abaddamu ennyimba z’omugenzi Elly Wamala nga tebafunye lukusa bakukubwa mu mbuga z’amateeka.
Lydia Wamala ngono yomu ku bawala bomugenzi agamba nti ennyimba za Wamala zirimu obubaka era zisomesa abantu nga n’okuziddamu okuziyimba awatali kuweebwa lukuusa kiwebuula ekitiibwa ky’enyimba zino.
Bo abayimbi 15 abakkirizibwa okuddamu okuyimba ennyimba zino bakusanyusa bannayuganda mu kivvulu ekitegekeddwa okujjukira nga bwegiweze emyaka 10 bukyanga ava mu bulamu bwensi eno.
Ensimbi ezinava mu kivvulu kino eky’okubawo ngennaku zomwezi 12 omwezi oguggya ku Serena hotel zakuyamba mu kutumbula ebyenjigiriza ku ssomero lya Mugongo secondary school.