Amawulire

Bannamaggye bawandiisiddwa okufuna endagamuntu

Ali Mivule

November 13th, 2014

No comments

ID registration

Bannamaggye abakaakkalabiza egyaabwe mu ggwanga lya Somalia olwaleero bawandisiddwa okufuna endagamuntu

Bano abasoba mu 200 bawandiisiddwa mu disitulikiti ye Nakaseke

Abajaasi bano baali tebawandiisibwa olw’ensonga nti baali ku mirimu era nga bakozesezza kaadi zaabwe ez’amaggye mu kubawandiisa

Aduumira amaggye Gen Katumba Wamala agambye nti ayagala abajaasi bonna abali mu Somalia bawandiisibwe ng’okuwnadiisa tekunnafundikirwa

Uganda erina abajaasi abasoba mu 6200 mu ggwanga lya Somalia ng’abali mu 4800 beebakawandiisibwa okufuna endaga Muntu