Ebyobulamu
Aba Ebola bangi bakebereddwa
Abantu abali mu mitwaalo 10 beebakeberebwa ekirwadde kya Ebola ku kisaawe Entebbe bukyanga kukebera kuno kutandika mu mwezi gw’omunaana.
Omukulu ku minisitule y’ebyobulamu Dr. James Sekajugo agamba nti ku bano 15 beebekengera kyokka ng’oluvanyuma basiibulwa oluvanyuma lw’okukakasa nti ssi balwadde
Omulimu guno gwakamalawo obukadde 20 ezakozesebwa mu kugula ebisabika byebakozesa okukebera abantu n’okusasula abakozi.
Yye omukulu mu kitongole ekikola ku kutangira endwadde eziba zibaluseewo,Jeff Borchert agamba nti okukebera kuno bakukola ku Ebola yekka kyokka nga ssinga baba bafunye ssente bandyagadde okubeera nga bakebera buli lunaku