Amawulire
Luzinda akoze sitatimenti
Omuyimbi Desire Luzinda kyaddaaki akoze sitatimenti ku poliisi
Luzinda atuuse ku poliisi ku ssaawa mukaaga ayiseewo butereevu okutuuka mu ofiisi w’omwogezi wa Poliisi gy’asisinkanye abalina okumusoya ebibuuzo okumala ebbanga
Mu sitatimenti Luzinda gy’akoze agusalidde muganzi we omu Nigeria gw’agamba nti yeeyafulumya ebifananyi bino nga naye teyakyagaala
Poliisi ebadde enoonya Desire okukola sitatimenti nga batuukako ne mu situdiyo za n’agaana okwogera nabo ng’agamba nti yali akooye
Ebifananyi bya Desire byafuuka ensonga oluvanyuma lw’okuyiibwa ku mikutu egitali gimu egya yintaneti ng’ali buswa