Amawulire
Nkumba yunivasite eggaddwa
Yunivasite ye Nkumba egaddwa ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’ennaku 3 nga abayizi bekalakaasa olw’ebisale bya fiizi okwonngezebwa.
Abakulira ettendekero lino baayongezza ensimbi z’okuddamu okutuula ebigezo okuva ku siringisi 100,ooo okutuuka ku 200,000 sso nga omuntu kati bwasubwa okukola olupapula lwonna asasula 100,000 okuva ku mitwalo 2.
Ssentebe w’olukiiko olutwala ettendekero lino Dr David Byatike Matovu ategezezza nga bakoze kino kubanga abayizi babadde bagenda maaso n’okwonona ebintu by’essomero.
Kati abayizi bonna balagiddwa okufuluma ettendekero lino nga era poliisi ezinzeeko ekifo kyonna .