Amawulire

NRM ebadde temanyi nti bagibanja

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Besigye now goes arround town

Poliisi n’era erinye  okulinya eggere mu nteekateeka zabannakisinde kya 4GC abakedde okugenda ku kitebe ky’a minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga okukwanga bekikwatako ekiwandiiko nga babanja omuyambi wa Dr. Kiiza Besigye nga ono ye Sam Mugumya.

Poliisi ekedde kusalako luguudo lwa sir Apollo wakati mu kulindirira bannakisinde kino.

Bano nga bakulembeddwamu eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye batuuse nebalemerako nga bagamba omulundi ogwasooka poliisi y’abatwala tebesiikidde kanyeebwa ku kitebe kya Congo n’ebalagira okujja ku minisitule eno.

Besigye ategezezza nga bwebagala okumanya ebikwata ku Mugumya kubanga mpawo kyebamanyi kimukwatako.

Ku ntandikwa ya ssabbiiti eno poliisi bano y’abalemesezza okukwanga ekitebe kya congo ekiwandiiko ekibanja Mugumya nga era baali baagala na Viza zibatwala Congo nazo zebatafuna.

Mugumya y’akwatibwa ssabiiti nga 2 eziyise e Congo nga omwogezi wa UPDF  Lt.Col Paddy Ankunda y’ategeeza nga ono bweyakwatibwa ku byekuusa ku by’ekiyekera sso nga gavumenti ya Congo egamba baamukwata lwakuyingira mu ggwanga lyabwe mu bukyali.