Amawulire

Abalima ebimuli bya KCCA beediimye

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

KCCA flowers

Abalima mu bimuli bya KCCA bassizza wansi ebikola.

Bano nga bali eyo mu  200 okuva mu division 5 wano mu kampala bagumbye ku kitebe kya KCCA basisinkanemu bekikwatako ku nsonga eno.

Abamu ku bano abataagadde kwatukirizibwa mannya bategezezza nga bwebakamala emyezi 2 nga tebalaba ku musaala nga era abakulembeze baabwe bakyaali mu kafubo n’aba KCCA.

Wabula yye omwogezi wa KCCA Peter Kawuju ategezezza nga bwewatali kediimo konna nga ensisinkano eno etegekeddwa kuteesa ku nsonga z’abantu bano.